Lamentations 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kino tekibakwatako, mwenna abayita wano? Mutunule, mulabe: waliyo ennaku eri ng'ennaku yange gye bandabisa, Omukama gye yantegekera ku lunaku olw'okwesera kw'obusungu bwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo? mwetegereze mulabe obanga waliwo obuyinike obwenkana, obwantukako, Mukama bwe yanteekako ku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo?” Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ne kigamba nti: “Abange, temufaayo mmwe, abayitawo mwenna? Eriyo alina obulumi obwenkana buno obwange, Mukama bwe yantuusaako, ng'ansunguwalidde?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temufaayo, mmwe mwenna abayitawo? Mutunule mulabe oba nga waliwo obuyinike bwonna obwenkana obuyinike bwange obukoleddwa nze, Mukama bw'ambonyaabonyezezza ku lunaku olw'ekiruyi kye.