Lamentations 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yansindikira omuliro okuva waggulu, n'agusenseza mu magumba gange; ebigere byange n'abitaayiza n'ekitimba; anzizizza ennyuma, andese matongo, olunaku lwonna ndi awo nnyenjebuse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yaweereza omuliro okuva waggulu, ne gukka mu magumba gange. Yatega ebigere byange akatimba, n’anzizaayo emabega. Yandeka mpuubadde, nga nzirise olunaku lwonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yaweereza omuliro mu magumba gange ng'asinziira waggulu, ne gugawangula. Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza emabega, Andeeseeko okuwuubaala n'okuzirika n'okuyongobera okuzibya obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yaweereza omuliro okuva waggulu n'agusindika mu magumba gange. Yantega ekitimba n'ankuba wansi, n'anjabulira nga ndi mu bulumi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yaweereza omuliro mu magumba gange ng'ayima waggulu, ne gugawangula: Ategedde ebigere byange ekitimba, anzizizza ennyuma, Andeeseeko okuwuubaala n'okuzirika n'okuyongobera okuzibya obudde.