Lamentations 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama azize abatabaazi bange bonna abali ewange; ayise eggye linnwanyise, libetente abavubuka bange. Omukama asogola mu ssogolero ly'evviini, asambiridde embeerera muwala wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mukama anyoomye abalwanyi abazira bonna abaali nange; akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa, okuzikiriza abavubuka bange. Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda, ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab'amaanyi abali wakati mu nze; Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abavubuka bange; Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga asamba emizabbibu mu ssogolero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama asekeredde abaserikale be nnina abasingira ddala amaanyi. Ansindikidde eggye okuzikiriza abavubuka bange. Asambiridde abantu bange, ng'emizabbibu mu ssogolero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama anyoomye abasajja bange bonna ab'amaanyi wakati mu nze; Ankuŋŋaanyirizzaako okukuŋŋaana okutukuvu okubetenta abalenzi bange: Mukama asambye omuwala wa Yuda atamanyi musajja nga mu ssogolero.