Lamentations 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kyenva nkaaba olwa bino byonna; amaaso gange gattulukuka amaziga, kubanga eyandinkubagizza andi wala, oyo eyandinzizizzaamu amaanyi. Abaana bange balekeddwa awo ttayo, kubanga omulabe asinzizza amaanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyenva nkaaba, amaaso gange ne gajjula amaziga, kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa, ayinza okunzizaamu amaanyi. Abaana bange banakuwavu kubanga omulabe awangudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi; Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala; Abaana bange balekeddwawo, kubanga omulabe awangudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kyenva nkaaba olw'ebyo ne nkulukusa amaziga. Tewali ayinza kunkubagiza, wadde anzizaamu amaanyi. Abalabe bampangudde, abantu bange basigalidde awo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'ebyo kyenvudde nkaaba amaziga; eriiso lyange, eriiso lyange likulukuta amazzi; Kubanga omukubagiza eyandisanyusizza emmeeme yange andi wala: Abaana bange balekeddwawo kubanga omulabe awangudde.