Lamentations 1:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama mutuukirivu, kubanga najeemera ekiragiro kye. Ayi amawanga mwenna, muwulire, era mulabe ennaku zange: bawala bange embeerera n'abavubuka bagenze mu busibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama mutuukirivu, newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye. Muwulirize mmwe amawanga gonna, mutunuulire okubonaabona kwange; Abavubuka bange ne bawala bange batwalibbwa mu busibe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye; Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange; Abawala bange n'abalenzi bagenze mu busibe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Mukama mwenkanya, kubanga nze najeemera ebiragiro bye. Muwulire mmwe amawanga gonna, mutunuulire obuyinike bwange. Batabani bange ne bawala bange batwaliddwa nga basibe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama mutuukirivu; kubanga njeemedde ekiragiro kye: Muwulire, mbeegayiridde, mmwe amawanga gonna, mulabe obuyinike bwange: Abawala bange n'abalenzi bange bagenze mu busibe.