Lamentations 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nayita mikwano gyange, naye bandese mu bbanga; bakabona bange n'abakadde bazikiriridde mu kibuga nga banoonya akamere bezzeemu ku ndasi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nakoowoola bannange bannyambe, naye tebanfaako; bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange bazikiririra mu kibuga nga banoonya ekyokulya baddemu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayita baganzi bange, naye ne bannimba; Bakabona bange, n'abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga, Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nayita mikwano gyange naye ne batannyamba. Bakabona n'abakulembeze bange baafiira mu nguudo z'ekibuga, nga bagenda beenoonyeza akamere kwe banaakuumira obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nayita baganzi bange, naye ne bannimba: Bakabona bange n'abakadde bange baaweerayo obulamu bwabwe mu kibuga, Nga bwe beenoonyeza emmere okuweezaweeza emmeeme zaabwe.