Lamentations 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaaba obutasiriikirira ekiro kyonna, amaziga gamukulukutira ku matama. Mu baganzi be bonna temuli amukubagiza; mikwano gye bonna bamusalidde enkwe, bamufuukidde balabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiro akaaba nnyo nnyini, n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge. Mu baganzi be bonna, talina n’omu amubeesabeesa. Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe, bafuuse balabe be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kikaaba nnyo nnyini ekiro, n'amaziga, gali ku matama gaakyo; Mu baganzi baakyo bonna tewali n'omu wa ku kisanyusa; Mikwano gyakyo gyonna bakiriddemu olukwe, Bafuuse balabe baakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiro, kikaaba amaziga, ne gakibuna amatama! Mu baganzi baakyo ab'edda tewali akikubagiza. Abeetabanga nakyo, bakiriddemu olukwe kaakati balabe baakyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akaaba nnyo nnyini ekiro n'amaziga ge gali ku matama ge; Mu baganzi be bonna talina n'omu wa kumusanyusa: Mikwano gye gyonna bamukuusakuusizza, Bafuuse abalabe be.