Lamentations 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayi Mukama, laba bwe ndi mu nnaku, munda mumbabuukirira; omutima gunfuukuuse muli, kubanga ddala nali mujeemu. Ebweru ekitala kiwemmenta, ate ekiri mu nyumba kiri ng'olumbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu! Ndi mu kubonaabona, n’omutima gwange teguteredde kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde. Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo, ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunula, ayi Mukama; kubanga ndi munaku, emmeeme yange yeeraliikiridde; Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini. Ebweru ekitala kinyaga, mu nju mulimu ng'okufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Laba, ayi Mukama, obuyinike bwange, era nneeraliikirira nnyo. Omutima gwange gumenyese, nga nneenenya olw'ebibi byange. Obutemu bwe buli mu nguudo, n'okufa kwe kuli mu nnyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunula, ai Mukama; kubanga ndi munaku: emmeeme yange yeeraliikiridde; Omutima gwange gukyuse munda yange; kubanga njeemye nnyo nnyini: Ebweru ekitala kinnyaga, mu nju mulimu ng'okufa.