Lamentations 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wulira bwe nsinda, naye tewali ankubagiza. Abalabe bange bonna bawulidde ku kabi ke ndimu, ne basanyukira kye wakola. Leeta olunaku lwe walangirira, nabo bafaanane nga nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bawulidde okusinda kwange, naye tewali n’omu ananyamba. Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange; basanyukidde ekyo ky’okoze. Olunaku lwe walangirira, lubatuukeko, babeere nga nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali na wa kunkubagiza; Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese. Leeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nga nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bawulidde bwe nsinda ne wataba ankubagiza. Abalabe bange basanyuse olw'akabi k'ontuusizzaako. Tuusa olunaku lwe walangirira, nabo baboneebone nga nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bawulidde nga nzisa ebikkowe; tewali wa kunkubagiza; Abalabe bange bonna bawulidde ennaku ze ndabye; basanyuse kubanga okireese: Olireeta olunaku lwe walangirira, nabo balifaanana nze.