Lamentations 1:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okwonoona kwabwe kwonna kujje mu maaso go; nabo bakole nga bwe wankola olw'emisango gyange gyonna. Okusinda kwange kungi, n'omutima gwange muyenjebufu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, nga nze bwe wambonereza. Okusinda kwange kungi n’omutima gwange guzirika.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; Era obakole nga bw'onkoze nze olw'okusobya kwange kwonna; Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n'omutima gwange guyongobedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Basingise omusango olw'ebibi byabwe, obabonereze nga bw'obonerezza nze olw'ebibi byange. Nsinda olw'obuyinike, omutima gunnyongobedde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi bwabwe bwonna butuuke mu maaso go; Era obakole bo nga bw'onkoze nze olw'okusobya kwange kwonna: Kubanga ebikkowe bye nzisa bingi, n'omutima gwange guyongobedde.