Lamentations 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda yagenda mu buwaŋŋanguse oluvannyuma lw'ennaku n'okutuntuzibwa. Asula eyo mu mawanga, naye tasanga buweerero. Abamukijjanya bonna bamukutte wakati mu nnaku ze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda agenze mu buwaŋŋanguse oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu. Kati abeera mu bannamawanga, talaba kifo kya kuwummuliramu. Bonna abamunoonya bamusanga mu nnaku ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yuda agenze mu busibe, olw'okubonyaabonyezebwa n'olw'obuddu obuzito; Kaakano abeera mu mawanga, naye talaba kiwummulo. Abamugoba bonna bamuyisizza wakati mu bulumi bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Buyudaaya batwaliddwa mu busibe. Bafuuliddwa abaddu, tebakyalina waabwe. Beetooloddwa abalabe, awatali buddukiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda agenze mu busibe olw'okubonyaabonyezebwa n'olw'obuddu obuzito; Abeera mu bannaggwanga, talaba kiwummulo: Bonna abamuyigganya bamukwatira wabi.

Recommended Reading