Lamentations 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amakubo ga Siyoni gakungubaga kubanga tewali bajja ku mbaga ze enkulu eziragiddwa. Emiryango gye gyonna mikalu, ne bakabona be basinda; bawala be embeerera badooba, naye yennyini ennaku emuyinze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enguudo za Sayuuni zikungubaga, kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa. Emiryango gye gyonna girekeddwa awo, bakabona be, basinda; bawala be abaweereza bali mu buyinike, naye yennyini ali mu nnaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali n'omu ajja ku mbaga ezaateekebwawo; Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda. Bawala be bawaluddwa ne bagyibwawo, naye yennyini abonaabona nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enguudo ezituuka mu Siyooni kaakano zikungubaga: abaziyitamu tewali okwambuka okusinza Katonda. Emiryango gyakyo myereere. Abawala abaakiyimbirangamu, kati bakulukusa maziga. Bakabona bali mu kusinda!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amakubo ga Sayuuni gakaaba, kubanga tewali ajja eri okukuŋŋaana okutukuvu; Emiryango gye gyonna girekeddwawo, bakabona be basinda: Bawala be baliko obuyinike, naye yennyini abalagalwa.
Recommended Reading