Lamentations 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe be kati be bakama be; bo abalabe be bali mirembe. Omukama amulabizza ennaku olw'okubeera emisango gye emingi. Abaana be bagenze mu busibe, be bakulembeddemu omulabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamuyigganya bafuuse bakama be; abalabe be beeyagala, kubanga Mukama amuleeseeko ennaku, olw’ebibi bye ebingi. Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse, bawambiddwa omulabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa; Kubanga Mukama amubonyabonyezza olw'olufulube lw'ebyonoono bye; Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g'omulabe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe baakyo bawangudde, kiri mu mikono gyabwe, kubanga Mukama akibonerezza olw'ebibi byakyo ebingi. Abaana baakyo bawambiddwa, ne batwalibwa omulabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalabe be bafuuse omutwe, abamukyawa balabye omukisa; Kubanga Mukama amubonyaabonyezza olw'olufulube lw'ebyonoono bye: Abaana be abato bagenze mu kusibibwa mu maaso g'omulabe.