Lamentations 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwala wa Siyoni ekitiibwa kimuwedde, abakungu be bali ng'ennangaazi ezibuliddwako eddundiro; badduka nga tebaliimu twanyi mu maaso g'ababagoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni kimuweddeko, abalangira be bafuuse ng’ennangaazi ezibuliddwa omuddo; mu bunafu, badduse ababagoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna. Abakungu be bafuuse ng'ennangaazi ezitalaba muddo, Era ezidduka nga tezirina maanyi mu maaso g'oyo azigoba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyali ekitiibwa kya Siyooni, kati kifumwa bufumwa. Abakungu baakyo bali ng'ennangaazi ezitakyalina muddo, era eziweddemu amaanyi nga zigobebwa abayizzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuwala wa Sayuuni afiiriddwa obukulu bwe bwonna: Abakungu be bafuuse ng'ennangaazi ezitalaba muddo, Era bagenze nga tebalina maanyi mu maaso g'oyo ayigganya.