Lamentations 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeruzaalemu ajjukira ennaku z'okubonaabona kwe n'okubungabunga n'eby'obugagga bwe byonna mu nnaku ez'edda; abantu be lwe baagwa mu mikono gy'abalabe, waabula adduukirira; abalabe be bamutunuulira ne baseka okulaba ng'azikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana, Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna bye yalinanga mu nnaku ez’edda. Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe, tewaali n’omu amubeera; abalabe be ne bamutunuulira ne bamusekerera olw’okugwa kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez'okulabiramu ennaku n'obuyinike, Ebintu bye byonna ebisanyusa ebyabangawo okuva mu nnaku ez'edda. Abantu be bwe baagwa mu mukono gw'omulabe, so nga tewali amuyamba, Abalabe bamulaba ne bakudaalira okugwa kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerusaalemu ajjuukirira mu nnaku ye ne mu buyinike bwe obungi ekitiibwa kye eky'edda. Bwe yalumbibwa abalabe ne wataba bamudduukirira, abalabe be beesekera, ne bamukudaalira ng'agudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yerusaalemi ajjukirira mu nnaku ez'okulabiramu ennaku n'obuyinike Ebintu bye byonna ebisanyusa, ebyabangawo okuva mu nnaku ez'edda: Abantu be bwe baagwa mu mukono gw'omulabe, so nga tewali amuyamba, Abalabe baamulaba ne bakudaalira okuziika kwe.