Lamentations 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeruzaalemu yayonoonera ddala, kyavudde afuuka ekintu ekyenyinyalwa, bonna abaamugulumizanga bamugaya, kubanga baalaba obwereere bwe; ye yennyini asinda n'akyukira eri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma, kubanga balabye bw’asigalidde awo; ye yennyini asinda, era akwatibwa ensonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng'ekintu ekitali kirongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyi ze. Weewaawo, ye kennyini asinda, era n'akyusa amaaso ge n'agatunuza eri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yerusaalemu yayonoona nnyo, afuuse atali mulongoofu. Abaamussangamu ekitiibwa, bonna bamunyoomoola nga balaba ali bwereere. Naye yennyini alinda, ne yeebwalabwala ng'aswadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, kyavudde afuuka ng'ekintu ekitali kirongoofu: Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyoomye, kubanga balabye ensonyize: Weewaawo, assa ekikkowe n'akyuka ennyuma.