Lamentations 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obujama bwe bukwatidde ku mivuluya gye, teyalowooza ku binaamujjira. Engwa ye kyeyava yeewuunyisa, nga talina n'amukubagiza. “Ayi Mukama, laba bwe mbonaabona, kubanga omulabe wange awangudde!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye; teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja. Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo; tewaali n’omu amubeesabeesa. “Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange, kubanga omulabe awangudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Empitambi ye yali mu birenge bye; teyalowooza ku kuzikirira kwe; Kyavudde akkakkanyirizibwa ddala; talina amusanyusa. Ayi Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obwonoonefu bwe bwalabika, kyokka n'atafaayonako ku kabi akaliddirira. Ekyo ne kimusuula wala, nga takyakubagizika. Abalabe bamuwangudde, olwo kwe kuwanjagako nti: “Zinsanze! Ayi Mukama nnyamba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Empitambi ye yali mu birenge bye; teyajjukira nkomerero ye ya luvannyuma; Kyavudde akkakkanyizibwa ddala; talina amusanyusa: Ai Mukama, tunuulira okubonyaabonyezebwa kwange; kubanga omulabe yeegulumizizza.