Lamentations 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gange gayimbadde olw'okukaaba; munda mumbabuukirira. Omutima gwange guyiise ku ttaka olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; kubanga omuto n'omuwere bagudde eŋŋanzi mu nguudo z'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso gange gakooye olw’okukaaba n’emmeeme yange enyiikadde n’omutima gwange gulumwa olw’okuzikirizibwa kw’abantu bange, n’olw’abaana abato n’abaana abawere okuzirikira wakati mu nguudo ez’omu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso gange gazzeko ekifu olw'okukaaba amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde, Omutima gwange munakuwavu olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; Kubanga abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo ez'omu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso gange galiko ekifu olw'okukaaba amaziga. Omutima gwange munakuwavu, olw'okuzikirira kw'abantu bange. Abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo z'ekibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gange gaziba olw'amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde, Ekibumba kyange kifukiddwa ku ttaka olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; Kubanga abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo ez'omu kibuga.