Lamentations 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakaabirira bannyaabwe nti: “Eŋŋano n'evviini biruwa?” bwe baabanga bayenjebuse ng'abafumite ku nguudo z'ekibuga, bwe baabanga batondokera ku mibiri gya bannyaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakaabirira bannyaabwe nga bwe boogera nti, “Omugaati n’envinnyo biri ludda wa?” nga bwe bazirika okufaanana ng’abaliko ebiwundu mu nguudo ez’ekibuga, nga bwe bakaabira mu bifuba bya bannyaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakaabirira bannyaabwe, nti, “Eŋŋaano n'omwenge biri ludda wa?” Nga bazirikira ng'abasajja abafumitiddwa mu nguudo ez'omu kibuga, ng'obulamu bwabwe buggwerawo mu bifuba bya bannyaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakaabirira bannyaabwe nga balumwa enjala n'ennyonta. Bazirikira mu nguudo z'ekibuga ng'abafumitiddwa ebiwundu, olwo ne batondokera mu mikono gya bannyaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagamba bannyaabwe nti Eŋŋaano n'omwenge biri ludda wa? Bwe bazirikira ng'abaliko ebiwundu mu nguudo ez'omu kibuga, Emmeeme yaabwe bw'efukibwa mu kifuba kya bannyaabwe.