Lamentations 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnaakwogerako ki, nnaakugeranya ku ki, ayi muwala wa Yeruzaalemu? Nnaakufaananya ki ndyoke nkukubagize, ayi embeerera, muwala wa Siyoni? Ekiwundu kye kyenkana ennyanja obuwanvu; ani anaakuwonya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyinza kugamba ki, era kiki kye nnyinza okukugeraageranyaako ggwe Omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnyinza okukufaananya, okukusanyusa ggwe Omuwala Embeerera owa Sayuuni? Ekiwundu kyo kinene nnyo, kale ani ayinza okukiwonya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kiki kye nnaakutegeeza, mbeere omujulirwa gy'oli? Kiki kye nnaafaananya naawe, ayi omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnenkanyankanya naawe, ndyoke nkusanyuse, ayi omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja? Kubanga ng'ennyanja gy'ekoma obugazi, n'okwonoonekakwo gye kukoma; Ani ayinza okukuwonya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Leero ŋŋambe ntya, ggwe Yerusaalemu! Nnaakukubagiza ntya? Nkugeraageranye ku ani? Ani yali abonyeebonye nga ggwe? Obuyinike bwo tebukoma, buli nga nnyanja! Essuubi lyo linaava wa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki kye nnaakutegeeza nga ndi mujulirwa gy'oli? kiki kye nnaafaananya naawe, ai omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnenkanya naawe, nkusanyuse, ai omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja? Kubanga ekituli kyo kinene ng'ennyanja: ani ayinza okukuwonya?