Lamentations 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalanzi bo bye baalabikirwa, byali bya bulimba na kuguya; tebaayerula kibi kyo ozze emikisa gyo. Bye baalabikirwanga ku ggwe bwali bulimba na kubuzaabuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwolesebwa bannabbi bo kwe baafuna, kwali kwa bulimba era kwa butaliimu; tebaakutegeeza obutali butuukirivu bwo okukuwonya obusibe. Engero ze baabanyumizanga zaali za bulimba era eziwabya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bannabbi bo balabye okwolesebwa okutaliimu okw'obulimba; So tebakunnyonnyodde obutali butuukirivu bwo, balyoke bakomyewo emikisa gyo, era bakuvunuulidde ebirooto eby'obulimba era ebibuzabuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalanzi bo baakulimbalimbanga ne batakulaganga bibi byo. Ne bakulowoozesanga nti teweetaaga kwenenya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bannabbi bo bakulabidde okwolesebwa okutaliimu okw'obusirusiru; So tebakunnyonnyodde obutali butuukirivu bwo, okukomyawo obusibe bwo: Naye bakulabidde emigugu egitaliimu n'ensonga ez'okugobebwa.