Lamentations 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna ababa bayise ekkubo eryo, engalo bazikubamu okubeera ggwe, bafuuwa ekiwa ne bakunyeenyeza omutwe ku lwa muwala wa Yeruzaalemu nti: “Kino kye kibuga kye baayitanga Entikko y'Obulungi, essanyu ly'ensi yonna?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna abayitawo babakubira mu ngalo ne bafuuwa empa ne banyeenyeza omuwala wa Yerusaalemi emitwe gyabwe nga boogera nti, “Kino kye kibuga ekyayitibwanga ekituukiridde, era essanyu ly’ensi zonna?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bonna abayitawo bakukubira mu ngalo; Basooza ne banyeenyereza omutwe gwabwe omuwala wa Yerusaalemi nga boogera nti, “Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti, Obulungi obw'Abatuukirira, Essanyu ery'ensi zonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abayitawo bakusunga. Banyeenya emitwe gyabwe ne basekerera Yerusaalemu nti: “Kino kye kibuga nno kye baayitanga ekirungi ennyo, ekitenderezebwa ensi yonna?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bonna abayitawo bakukubira mu ngalo; Basooza ne banyeenyereza omutwe gwabwe omuwala wa Yerusaalemi nga boogera nti Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti Obulungi obw'Abatuukirira, Essanyu ery'ensi zonna?