Lamentations 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalabe bo bakwasamiza akamwa, bonna wamu okukuvuma; bafuuwa ekiwa ne baluma obujiji, ne bagamba nti: “Tumumize bugobo; luno lwe lunaku lwe twalindanga, tutuuse ne tulwerabirako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bo bonna baasaamiridde nga beewuunya; nga bafuuwa empa, era baluma amannyo nga boogera nti, “Tumuzikirizza. Luno lwe lunaku lwe twalindirira, kaakano lutuukiridde, era tululabye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bo bonna bakwasamidde akamwa kaabwe, Basooza ne baluma obujiji; boogera nti, “Tumuzikiriza!” Mazima luno lwe lunaku lwe twasuubira; twalulindirira, era tululabye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe bo bonna bakwogezaako bukyayi. Beesooza ne baluma obujiji, ne bagamba nti: “Tukizikirizza! Luno lwe lunaku lwe twalindiriranga!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalabe bo bonna bakwasamidde nnyo akamwa kaabwe; Basooza ne baluma obujigi; boogera nti Tumumize; Mazima luno lwe lunaku lwe twasuubira; tulusanze, tululabye.