Lamentations 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akoze bye yateesa; atuukirizza kye yagamba, kye yalagira okuva edda. Azikirizza awatali kusaasira; alese omulabe n'akweyagalirako, amaanyi g'abalabe bo n'agasukkulumya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akoze kye yateekateeka, era atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez’edda. Akuzikirizza awatali kukusaasira, aleetedde omulabe wo okukusekerera, n’amaanyi g’abalabe bo agagulumizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama akoze ekyo kye yateesa; Atuukirizza ekigambo kye yalagira mu nnaku ez'edda; Atuzikirizza awatali kisa; Era awadde abalabe baffe okutweyagalirako, Awadde amaanyi abo abakukyawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama akoze kye yateesa, atuzikirizza awatali kisa nga bwe yatulabula edda. Awadde abalabe baffe okutweyagalirako, ng'abatuusa ku buwanguzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama akoze ekyo kye yateesa; Atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez'edda; Asudde so tasaasidde: Era awadde omulabe okukusanyukirako, Agulumizizza ejjembe ly'abo abakukyawa.