Lamentations 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwabwe guwanjagira Omukama, Ggwe bbugwe w'omuwala wa Siyoni. Leka amaziga go gakulukute ng'omugga emisana n'ekiro; toweera, eriiso lyo tolireka kuwummula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe Omuwala wa Sayuuni. Leka amaziga go gakulukute ng’omugga emisana n’ekiro. Teweewummuza so toganya maaso go kuwummula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwabwe gwakaabira Mukama! Ayi bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni, amaziga gaabwe gakulukuta ng'omugga emisana n'ekiro! Towummula n'akatono; emmunye y'eriiso lyo terekangayo kukaaba maziga!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Yerusaalemu ebisenge byo byennyini bikaabirire Mukama! Amaziga go gakulukute ng'emigga ekiro n'emisana! Towummula n'akatono, wadde okusumagirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwabwe gwakaabira Mukama: Ai bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni, amaziga gakulukute ng'omugga emisana n'ekiro; Teweewummuza n'akatono; emmunye y'eriiso lyo terekangayo.