Lamentations 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Situka, tema omulanga ekiro, mu masooka g'ebisisimuka; omutima gwo guyiwe ng'amazzi mu maaso g'Omukama; situlira gy'ali emikono gyo, olw'obulamu bw'abaana bo abayenjebuse olw'enjala mu buli masaŋŋanzira ga luguudo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Golokoka, okaabe ekiro obudde nga bwa kaziba; Fuka emmeeme yo ng’amazzi mu maaso ga Mukama. Yimusa emikono gyo gy’ali, olw’obulamu bw’abaana bo abato abazirise olw’enjala mu buli luguudo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Golokoka, okaabe mu kiro ebisisimuka we bitandikira! Fukumula ebikuli ku mutima gwo ng'amazzi mu maaso ga Mukama! Yimusa emikono gyo gy'ali, olw'obulamu bw'abaana bo abato, Abaagala okufa enjala mu buli luguudo we lutandikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zuukuka emirundi mingi mu kiro kyonna, weegayirire Mukama. Fukumula ebikuli ku mutima, osabire abaana bo abato obulamu abakufiirako enjala buli w'oyita mu nguudo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Golokoka, okaabe ekiro ebisisimuka we bisookera; Fuka omutima gwo ng'amazzi mu maaso ga Mukama: Yimusa emikono gyo gy'ali olw'obulamu bw'abaana bo abato, Abaagala okufa enjala buli luguudo we lusibuka.