Lamentations 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ayi Mukama, tunula, wekkaanye: Ani gwe wali oyisizza otyo? Bwe batyo abakazi balye ezzadde lyabwe, abaana be balabiridde n'okwagala? Bakabona n'abalanzi bandittiddwa mu kitukuvu ky'Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Tunula, Ayi Mukama Katonda osaasire! Ani gwe wali obonerezza bw’otyo? Ddala, abakyala balye ebibala by’embuto zaabwe, abaana be bakuzizza? Ddala, bakabona ne bannabbi battibwe mu watukuvu wa Mukama?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunula, ayi Mukama, olabe! Ani gw'okoze bw'otyo? Kisaana abakazi balye abo ababavamu? abaana be balera? Kisaana kabona ne nnabbi battirwe mu kifo ekitukuvu ekya Mukama?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tunula olabe ayi Mukama, abo b'obonereza bw'otyo. Ddala abakazi abazadde balye abaana baabwe be balera? Era bakabona n'abalanzi battirwe mu Ssinzizo mwennyini?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunula, ai Mukama, olabe bw'ali gw'okoze bw'otyo Abakazi balirya ebibala byabwe, abaana ababuusibwabuusibwa mu mikono gyabwe? Kabona ne nnabbi balittirwa mu kifo ekitukuvu ekya Mukama