Lamentations 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wankoowoolera, nga ku lunaku olukulu, ebyentiisa okuva ku njuyi zonna. Ku lunaku lw'obusungu bw'Omukama tewaali kaawonawo, tewaali yasumattuka; be nalera ne nkuza omulabe wange abamazeewo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nga bw’oyita abantu ku lunaku olw’embaga, bw’otyo bw’ompitidde ebikemo ku njuyi zonna; era ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama, tewali n’omu eyasimattuka newaakubadde eyasigalawo; abo be nalabirira ne nkuza, omulabe wange be yazikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bw'oyita ku lunaku lw'embaga olulonde, bw'otyo bw'oyise entiisa yange ku buli ludda, So tewali yawonawo, newakubadde eyasigalawo ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; Abo be nnabuusabuusanga n'endera omulabe wange abazikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyise abalabe bange okuva ku njuyi zonna bajje beekole ekigenyi! Tewali yawonawo wadde eyasigalawo ku lunaku lw'obusungu bwo. Batta abaana bange be nalera nga mbaagala nnyo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyise entiisa zange okukuŋŋaana okuva enjuyi zonna nga ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, So tewali eyawona newakubadde eyasigalawo ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama: Abo be nnabuusabuusa n'endera omulabe wange abamazeewo.