Lamentations 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu busungu bwe obwesera akutuddeko obuyinza bwa Yisirayeli bwonna. Yakisa ddyo we ataasa omulabe bwe yasembera; ayaka mu Yakobo ng'omuliro ogubuubuuka, ogwokya buli kigwetoolodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu busungu obungi amaanyi gonna aga Isirayiri agakendeezezza; bw’alabye omulabe ng’asembera, n’aggyawo omukono gwe ogwa ddyo; anyiigidde Yakobo okufaanana ng’omuliro bwe gubumbujja ne gwokya buli ekiguliraanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ajjiddewo ddala mu busungu, amaanyi gonna aga Isiraeri; Abaggyeeko omukono gwe ogwa ddyo, mu maaso g'omulabe; Era ayokezza Yakobo ng'omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazeewo amaanyi ga Yisirayeli, ng'aliko ekiruyi. Yagaana okutukwatirako nga tuzindiddwa abalabe. Yatusunguwalira ng'omuliro ogwaka ennyo ne gwokya buli kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amazeewo ejjembe lyonna erya Isiraeri ng'aliko ekiruyi; Azzizzaayo omukono gwe ogwa ddyo mu maaso g'omulabe: Era ayokezza Yakobo ng'omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna.