Lamentations 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusaale gwe aguwese ng'omulabe, ddyo we mwetegefu; ng'omulabe asanjaze bonna abaali basanyusa okulaba; ku weema y'omuwala wa Siyoni abunduguddeko essungu lye ng'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaanudde omutego gwe okufaanana nga ogw’omulabe, era omukono gwe ogwa ddyo mweteefuteefu. Azikirizza ebyo byonna ebisanyusa amaaso mu weema ey’omuwala wa Sayuuni, okufaanana ng’omulabe bwe yandikoze; obusungu bwe bubuubuuka ng’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaanudde omutego gwe, ng'omulabe, n'omukono gwe ogwa ddyo ng'omulabe, Era asse byonna ebyasanyusanga amaaso gaffe, Mu weema ey'omuwala wa Sayuuni, mw'afukidde obusungu bwe ng'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yatuleegamu obusaale bwe ng'omulabe. Bonna abaatusanyusanga yabatta. Wano mu Yerusaalemu tuwulidde obukambwe bw'obusungu bwe!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaanudde omutego gwe ng'omulabe, ayimiridde n'omukono gwe ogwa ddyo ng'omulabe, Era asse bonna abaasanyusanga amaaso: Mu weema ey'omuwala wa Sayuuni mw'afukidde obusungu bwe ng'omuliro.