Lamentations 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama afuuse ng'omulabe, Yisirayeli amumize bugobo; amize bugobo embiri ze zonna, ebigo bye byonna abisaanyizzaawo, ayongedde obungi eri muwala wa Yuda okukuba ebiwoobe n'okukungubaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama afuuse ng’omulabe; azikirizza Isirayiri, n’azikiriza embiri ze, n’azikiriza n’ebifo bye eby’amaanyi. Aleetedde muwala wa Yuda okweyongera okukaaba n’okukungubaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama afuuse ng'omulabe, n'azikiriza Isiraeri, Azikiriza embiri ze zonna, alese mu matongo ebifo byonna eby'amaanyi; Era ayongedde okuwuubaala n'okukungubaga ku muwala wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yeefudde ng'omulabe n'azikiriza Yisirayeli. Embiri n'ebigo ebigumu ebyo alese nga matongo. Atuusizza ku b'omu Buyudaaya obulumi obutalojjeka!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama afuuse ng'omulabe, amize Isiraeri: Amize amayumba gaamu gonna, azikirizza ebifo bye eby'amaanyi: Era ayongedde okuwuubaala n'okukungubaga mu muwala wa Yuda.