Lamentations 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amenyeewo ekisulo kye ng'ennimiro, azikirizza ekifo kye eky'ensisinkano. Omukama yeerabizza Siyoni embaga ze enkulu eziragiddwa ne Sabbaato; mu busungu bwe anyoomye kabaka ne kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asaanyizzaawo eweema ye n’efaanana ng’ennimiro, era azikirizza n’ekifo kye eky’Okukuŋŋaanirangamu. Mukama yeerabizza Sayuuni embaga ze entukuvu ne ssabbiiti, era mu busungu bwe obungi anyoomye kabaka ne kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amenyeewo eweema ye lwa maanyi, ng'amenya weema ey'omu lusuku; Alese mu matongo ebifo ebyalondebwa okubeerangamu embaga, Mukama akomezza mu Sayuuni embaga ezaalondebwa ne Ssabbiiti, Mu kunyiiga n'obusungu bwe abonereza kabaka ne kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amenyeewo Essinzizo mwe twamusinzizanga. Akomezza ennaku enkulu ne Sabbaato, asunguwalidde kabaka ne bakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era aggyeewo eweema ye lwa maanyi, ng'ey'omu lusuku; Azikirizza ekifo kye eky'okukuŋŋaanirangamu: Mukama yeerabizza mu Sayuuni okukuŋŋaana okutukuvu ne ssabbiiti, Era anyoomye kabaka ne kabona olw'okunyiiga kw'obusungu bwe.