Lamentations 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yamalirira okumenyawo bbugwe abugiriza muwala wa Siyoni; yamupimako n'olukoba olupima, omukono gwe teyaguziyiza kuzikiriza, n'aleka bbugwe n'ekigo okukaaba, byombi ne biyenjebuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yamalirira okumenya bbugwe eyeetoolodde muwala wa Sayuuni, n’agolola omuguwa ogupima, Omukono gwe ne guteewala kuzikiriza. Yaleetera enkomera ne bbugwe okukungubaga, byonna ne biggweerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama amaliridde okuleka mu matongo ebisenge eby'omuwala wa Sayuuni; Yabipima n'omugwa, era n'atayimiriza mukono gwe okuleka okuzikiriza; Yaaletera enkomera ne bbugwe okukungubaga, biggweerawo wamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yamalirira okuzikiriza ebisenge bya Siyooni. Yapima nga bwe binaamenyebwa, n'atayimiriza ba kubizikiriza. Eminaala n'ebisenge bigudde wamu mu matongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ateesezza okuzikiriza bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni; Aleeze omugwa, omukono gwe taguzzizzaayo okuleka okuzikiriza: Naye akungubazizza olukomera ne bbugwe; biggweerawo wamu.