Lamentations 3:62 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
obwama n'okumuumuunya kw'abansitukiddemu nga bandiko olunaku lwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
obwama n’ebirowoozo eby’abalabe bange bye bantesaako obudde okuziba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emimwa n'ebirowoozo by'abo abaagala okunzita bangigganya okuzibya obudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banjogerako olunaku lwonna, ne banteesaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emimwa gy'abo abangolokokerako n'ebyo bye bandowoolezaako okuzibya obudde.