Lamentations 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zaabu afumye atya, zaabu omulungi atalazze atya? Amayinja amatukuvu gasaasaanye mu nsonda ya buli luguudo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaabu ng’ettalazze! Zaabu ennungi ng’efuuse! Amayinja ag’omuwendo gasaasaanye buli luguudo we lutandikira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Zaabu ng'eyonoonese!” Zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse! Amayinja ag'omu kifo ekitukuvu gasaasaanyiziddwa buli luguudo we lutandikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zaabu waffe ng'afumye! Zaabu omulungi afuuse! Amayinja ag'Essinzizo gasaasaanyiziddwa mu nguudo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zaabu ng'eyonoonese! zaabu ennungi ennyo nnyini nga efuuse! Amayinja ag'omu kifo ekitukuvu gafukibwa buli luguudo we lusibuka.