Lamentations 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'emikono gyabwe abakazi ab'omutima omusaasizi baafumba abaana baabwe; abo ye yali emmere yaabwe nga muwala w'abantu bange azikiriziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakazi ab’ekisa abaagala abaana bafumbye abaana baabwe; abaana abaafuuka emmere abantu bange bwe baazikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakazi ab'andibadde ab'ekisa ekingi, bafumbye abaana baabwe n'emikono gyabwe bo; Bafuuse kya kulya gyebali mu kuzikirira kw'omuwala w'abantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akabi akatuuse ku bantu bange nga katiisa! Abakazi abazadde abajjudde okwagala okungi, bafumbye abaana baabwe ne babalya!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakazi ab'okusaasira okungi bafumbye abaana baabwe bo n'emikono gyabwe bo; Baabanga ba kulya gye bali mu kuzikirira kw'omuwala w'abantu bange.