Lamentations 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama alaze obuswandi bwe bwonna, afukumudde obusungu bwe obwesera, ateekedde omuliro mu Siyoni, oguwemmense emisingi gyakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akituukirizza mu busungu bwe obungi, era abayiyeeko obusungu bwe obungi. Yakoleeza omuliro mu Sayuuni ogwayokya emisingi gyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama atuukirizza ekiruyi kye, era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe; Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama asumuludde obusungu bwe obukambwe n'akoleeza omuliro ku Siyooni, ne gukyokya okuggwaawo!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama atuukirizza ekiruyi kye, era afukidde ddala obusungu bwe obukambwe; Era akumye omuliro mu Sayuuni ogwokezza emisingi gyakyo.