Lamentations 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabaka b'ensi tebakkiriza, wadde bonna abasula mu nkulungo y'ensi, nti omulabe n'omuzigu baliyingira mu miryango gya Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabaka b’ensi n’abantu ab’ensi endala tebakkiriza, nti abalabe n’ababakyawa baliyingira mu wankaaki wa Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabaka b'ensi tebakkiriza, newakubadde abo bonna abatuula mu nsi zonna; Ng'omulabe, n'oyo abakyawa yandiyinzizza okuyingira mu miryango gy'e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teri n'omu yakkiriza wadde abafuzi mu mawanga, nti omulabe yandiyinzizza okuwaguza n'ayingira mu miryango gya Yerusaalemu!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabaka b'ensi tebakkiriza, newakubadde bonna abatuula mu nsi zonna, Ng'omulabe n'oyo abakyawa agenda okuyingira mu miryango gy'e Yerusaalemi.