Lamentations 4:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ekyo kyabaawo olw'ebibi by'abalanzi be n'olw'obugwenyufu bwa bakabona be abaayiwa mu makkati ge omusaayi gw'abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byabatuukako olw’ebibi bya bannabbi be, n’olw’obutali butuukirivu bwa bakabona be, abaayiwa omusaayi gw’abatuukirivu abaababeerangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kyaliwo lwa bibi bya bannabbi baamu n'obutali butuukirivu bwa bakabona baamu, Abaayiwa omusaayi gw'abatuukirivu wakati mu kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekyo kyasoboka olw'ebibi by'abalanzi ne bakabona baamu, abattiramu abantu abatalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lwa bibi bya bannabbi baamu n'obutali butuukirivu bwa bakabona baamu, Abaayiwa omusaayi gw'abatuukirivu wakati mu kyo.