Lamentations 4:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugende, temuli balongoofu,” bwe batyo bwe baabawereekerezanga, “mugende, mugende, temubaako kye mukwatako!” Bwe badduka, baatangatanga, ab'amawanga ne bagamba nti: “Na wano tebajja kusengawo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu baabagobaganya nga boogera nti, “Muveewo, mmwe abatali balongoofu! Muviireewo ddala, so temutukwatako!” Bwe baafuuka emmombooze, amawanga gabagobaganya nga boogera nti, “Tebakyasaana kubeera wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muveewo! Temuli balongoofu!” Abantu bwe baabalangira; “Muveewo! Muveewo! Temukwatako!” Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti, “Tebakyaddayo kubeera wano naffe nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ne babeegobako nti: “Muveewo, temutusemberera! Temutukoonanako, temuli balongoofu.” Ne babungeetera mu mawanga nga teri babaaniriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muveewo, bwe baabalangira, nti Ekitali kirongoofu muveewo, muveewo, temukomako: Bwe badduka ne bawaba, abantu ne boogera mu mawanga nti Tebakyabeera wano nate.