Lamentations 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yennyini abasaasaanyizza, takyaddamu kubatunuulira; bakabona tebassibwamu kitiibwa, n'abakadde tebaalagwa kisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yennyini abasaasaanyizza, takyabafaako. Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, newaakubadde abakadde okuweebwa ebifo eby’oku mwanjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza; era takyabassaako mwoyo, Bakabona tebakyassibwamu kitiibwa, n'Abakadde tebakyalagibwa kusaasirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama takyabaliko: yennyini yabasaasaanya. Bakabona n'abakulembeze tebakyassibwamu kitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama bubasaasaanyizza; takyassaayo mwoyo eri bo: Tebatya maaso ga bakabona, tebaganza bakadde.