Lamentations 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gaffe gayimbadde olw'okutunula nga tulinda obuyambi obutajja; twayima mu minaala gyaffe ne tulindirira, eggwanga eritaasobola kutulokola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso gaffe gakooye olw’okulindirira okubeerwa okutajja; nga tulindirira eggwanga eriyinza okutulokola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso gaffe gaaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa; Bwe twalindirira, eggwanga eritayinza naakutulokola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twakanda kutunula ne tukoowa nga tulinda obuyambi obutajja. Twalindirira obuyambi bw'eggwanga eritayinza kutuwonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gaffe gakyaziba nga tutunuulira okubeerwa kwaffe okutaliiko kye kugasa: Bwe twalindirira twalindirira eggwanga eritayinza kulokola.