Lamentations 4:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Siyoni abaali ab'omuwendo ab'ebbeeyi okwenkana zaabu omukuŋŋunte, batwalibwa batya ng'ensumbi ez'ebbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Sayuuni ab’omuwendo abaali beenkana nga zaabu ennungi, kaakano bali ng’ensuwa ez’ebbumba, omulimu gw’emikono gy’omubumbi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Batabani ba Sayuuni ab'omuwendo omungi, omuwendo gwabwe gwenkana zaabu ennungi, kaakati bayitibwa nsuwa za bbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abavubuka b'omu Siyooni abaali ab'omuwendo nga zaabu bayisibwa nga ebisuwa eby'ebbumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Batabani ba Sayuuni ab'omuwendo omungi, abenkana zaabu ennungi, Nga bayitiddwa nsuwa za bbumba, omulimu gw'emikono gy'omubumbi!