Lamentations 4:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukka gw'emivumbo gyaffe, omusiige w'Omukama, yakwatirwa mu mutego gwabwe, oyo gwe twayogerangako nti: “Mu kisiikirize kyo mwe tunaabeeranga nga tuli eyo mu mawanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo Mukama gwe yafukako amafuta yagwa mu mitego gyabwe. Twalowooza nga tulikwekebwa mu kisiikirize kye ne tubeeranga mu mawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukka ogw'omu nnyindo zaffe, oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe; Gwe twayogerako nti, “Wansi w'ekisiikirize kye tulituula mu mawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baakwasa mu bunnya bwabwe kabaka waffe era obulamu bwaffe, omusiige wa Mukama: oyo gwe twali twesiga okututaasa mu mawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukka ogw'omu nnyindo zaffe, oyo Mukama gwe yafukako amafuta, yakwatibwa mu bunnya bwabwe; Gwe twayogerako nti Tulituula mu mawanga wansi w'ekisiikirize ky'oyo.