Lamentations 4:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sanyuka ojaganye, muwala wa Edomu ggwe asula mu nsi y'e Wuuzi; naye n'ewuwo ekikompe kiriweerezebwayo; olitamiira ne weereka bukunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; naye lumu olinywa ku kikompe n’otamiira ne weeyambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sanyuka ojaguze, ayi omuwala wa Edomu, abeera mu nsi ya Uzi; Nammwe gye muli ekikompe gye kiriyisibwa; olitamiira ne weebikkula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musanyuke mujaguze mmwe Abeedomu n'ab'e Wuuzi! Naye akabi kalibajjira nammwe! Mulitagatta, mweyambule, muswale!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sanyuka ojaguze, ai omuwala wa Edomu abeera mu nsi ya Uzi: Ekikompe kirigguka kirituuka ne ku ggwe; olitamiira ne weebikkula.