Lamentations 4:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebibe biggyayo amabeere gaabyo ne biyonsa obwana bwabyo; naye muwala w'abantu bange akambuwadde nga maaya mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibe biyonsa abaana baabyo, naye abantu bange bafuuse ng’abatalina kisa, bafaanana nga bammaaya mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'emisege giggyayo amabeere, ne giyonsa abaana baagyo, omuwala w'abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'emisege giyonsa abaana baagyo, naye abantu bange bali nga mmaaya akambuwalira abaana be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'emisege giggyayo amabeere, giyonsa abaana baagyo: Omuwala w'abantu bange afuuse mukambwe nga bamaaya mu ddungu.