Lamentations 4:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaalyanga ebicepere bataayira mu nguudo; abaakulira mu ngoye entwakaavu baavulira mu lubungo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaalyanga ebiwoomerera basabiriza ku nguudo; n’abo abaakuzibwa ng’abambala engoye ezinekaaneka bali ku ntuumu ez’ebisasiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaalyanga emmere ennungi bawuubaalira mu nguudo; Abaakulira mu ngoye entwakaavu, kati bagalamira mu ntuumu ze vvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abaalyanga emmere esingira ddala obulungi, bafiira enjala mu nguudo. Abaakuzibwa mu kwejalabya, kati beenoonyeza kye banaalya mu ntuumu z'ebisaaniiko!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaalyanga nga beenaanya bawuubaalira mu nguudo: Abaakulira mu ngoye entwakaavu bawambaatira mmungo,

Recommended Reading