Lamentations 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati mu ndabika baddugala okusinga enziro, ku nguudo tebakyategeerekeka, ensusu zaabwe zetuggidde ku magumba gaabwe, zikaze okwenkana oluku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano badduggala okusinga enziro, era tebakyasobola kutegeerekeka mu nguudo. Olususu lwabwe lukalidde ku magumba gaabwe; lukaze ng’ekiti ekikalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaaso gaabwe gaasinga ekisiiriza okuddugala; tebaamanyibwa mu nguudo, Olususu lwabwe lwerangidde ku magumba gabwe; lukaze, lufuuse ng'oluku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kati bagubye ku maaso okusinga n'ebisiriiza. Tewakyaliwo abamanya gye bagudde mu nguudo! Olususu lwabwe lwerangidde ku magumba, lukaze ng'oluku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amaaso gaabwe gaasinga ekisiriiza okuddugala; tebaamanyibwa mu nguudo: Eddiba lyabwe lyegasse n'amagumba gaabwe; likaze, lifuuse ng'omuggo.