Lamentations 4:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abattibwa ekitala baali kale kale okusinga abaafa enjala; abo abaafumitibwa bakenena olw'okubulwa akookulya okuva mu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafa ekitala bafa bulungi okusinga abafa enjala, kubanga abafa enjala bayongobera ne baggwaawo olw’obutaba na mmere mu nnimiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abattiddwa mu lutalo basinga abo abafudde enjala; Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa, olw'okubulwa ebibala eby'omu nnimiro bye balya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abattirwa mu lutalo abo kalekaleko okusinga bano abakalambadde enjala, abatondose empolampola olw'okubulwa kye balya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abattiddwa n'ekitala basinga abo abafudde enjala; Kubanga abo bayongobera nga bafumitiddwa olw'okubulwa ebibala eby'omu nnimiro.