Lamentations 5:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusika bwaffe buweereddwayo mu bagwira, n'amaka gaffe mu b'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga, n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusika bwaffe bukyusiddwa, okuba obw'abannamawanga, Ennyumba zaffe okuba ez'abagwira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu byaffe bitwaliddwa bannamawanga, ennyumba zaffe zirimu bagwira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusika bwaffe bukyuse okuba obw'abanaggwanga, Ennyumba zaffe okuba ez'abatali ba muno.